Police ekoze ebikwekweto ku bagoba ba Taxi abasula mu zi park ezenjawulo nga bano tebalina waka wankalakkalira webasula, besulira mu mmotoka ,police kyegamba nti kyandireeta obumenyi bw’amateeka
Ebikwekweto bino bikoleddwa mu Park ezenjawulo era nga ebikwekweto bikoleddwa nga obudde busasaana nga 05 November,2026.
Waliwo abasangiddwa abasangidwa nga Taxi baazifuula buliri mwebasula.
Mu bikwekweto bino waliwo ababade bakwatiddwa wabula oluvanyuma nebayimbulwa abakulembeze babwe babeeyimiridde.
Stage z'Entebbe zezisinze okusangibwako abasula mu taxi zabwe, olwo ku makya nebakeera nebasenya busenya nebadda ku mirimu, wabula bewozezaako nti bbo basula basaabaza àbantu
Omu ku bakulembeze b'abagoba ba taxi ku stage y'Entebbe eyeyita Chef Abiyola agambye nti ab'ebyokwerinda bagende mu maaso n'ebikwekweto kibayambeko ku mbeera eyinza okubaleetera okufuna abakyamu mu mulimu gwabwe.
Gyebuvudde waliwo ne alipoota eyakolebwa ku bagoba ba Bodaboda mu Kampala, yalaga ng'abamu tebalina wakusula beebaka ku pikipiki zabwe, ate abamu basula batunula bwebukya nebeebaka mu bisiikirize by'emiti.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment