Abantu 9 bebakwatiddwa ku bigambibwa nti benyigidde mu kubbirira ebigezo bya UNEB eby'abayIzi ba P.7.
Abakwate kuliko omukungu wa UNEB mu district ye Butaleja ali ku ddala lya UNEB scout, eyatwaliddwa ku ssomero lya Mango Grove Junior school e Busoolwa, kigambibwa nti yasangiddwa nempapula za UNEB mu nsawo ye, era kati ali ku police ye Butalejja, ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Waliwo abalala 4 okuli omumyuuka w'essomero, nga y'akulira ebyenjigiriza ku ssomero lya Holmesdallen Primary school e Kamwokya, naabakungu ba UNEB 2 abali ku ddaala lya UNEB Investigator, n'omulala eyeeyise omukungu wa UNEB ku ddaala lya UNEB Scout, nga bano kigambibwa bakwatiddwa lubona mu nteekateeka yokulagirira abaana ebibuuzo.
E Rubirizi waliwo omukungu wa UNEB, Kasango Bumali, era naye ali ku ddaala lya UNEB Scout, eyatumiddwa ku ssomero lya Ndagaro Primary school, eyakwatiddwa lwakukuba mpapula bifaananyi naatandika okuzisindika ku mitimbagano.
Jennifer Kalule Musamba, ayogerera UNEB, ategeezezza nti waliwo nabalala 3 okuli Hajjat Lazier Nassanga, akulira Center y'essomero lya Prince Junior School e Gayaza, Margaret Nankabirwa okuva e Kayunga nga yasindikiddwa okukola ku ssomero lino, abeekobanye n'omusomesa w'okubala ategerekeseeko erya Mutibwa, okulagirira abayizi ebibuuzo.
Bano abasatu bakyakuumirwa ku police ye Kasangati balibdirirwa kutwalibwa mu mbuga z'amateeka.
Musamba agambye nti bano okukwatibwa kyadiridde enkolagana ennungi, UNEB gyerina naabantu mu bitundu ebyenjawulo, abajitemyako ku bubbi bw'ebigezo.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment