Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abalamuzi okwetoloola eggwanga lyonna okuwa obudde emisango egirimu abantu abanyigirizibwa nga beetaaga obwenkanya mu bwangu
Katikkiro agamba nti Uganda ejjuddemu abantu nĂkusingira ddala Abakyaala nĂbaana abatamanyi ddembe lyaabwe wadde amateeka, abakaluubirizibwa okufuna obwenkanya.
Abadde asisinkanye ekibiina ekitaba abakyala abalamuzi mu nsi yonna ki International association of Women Judges, ekiwayi ky'e Uganda.
Katikkiro annyonnyodde nti obutamanya mateeka kukosezza nnyo Abakyala, kwekusaba obwenkanya bwanguyizibwe.
Katikkiro asabye abakwatibwako ku nsonga z'amateeka obutakoowa kusomesa bannansi bikwata ku ddembe lyabwe, era yebazizza abalamuzi abakyala olw'entekateeka gyebalina okutuusa emisomo gy'emateeka eri abantu babulijjo, kyokka naalabula ku mwenkanonkano abakyaala gwebalwanirira.
Abalamuzi nga bakulembeddwamu omulamuzi Olive Kazaarwe , banjulidde Katikkiro enteekateeka zebalina mu kulwaanyisa embeera ezivaako obutabanguko mu maka, ne kaweefube gwebalina owĂkubudaabuda bonna abakoseddwa Obutabanguko.
Enteekateeka eno eruubirira okutuuka ku bantu 1000, nĂłkulaba nga emisango ebitundu 60% egiva ku butabanguko mu maka giggwawo.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment