Ebbago ly'etteeka erigendereddwamu okukyusa  enkola y'okulonda n'okugoba akulira oludda oluwabula government mu parliament  lyanjuddwa mu parliament omulundi ogusooka, nerisindiikibwa eri akakiiko ka parliament akalondoola eby'amateeka okwetegerezebwa.

Ababaka bannakibiina ki NRM abakkiririza mu kisinde kya Patriotic League of Uganda okuli Denis Namara owa Buyaga West ne Linos Ngompeke owa Kibanda North ne Simon Peter Okwalinga bebawomye omutwe mu bbago lino. 


Mu mwezi gwa June 2026, parliament yabakkiriza okugenda okuteekateeka ebbago lino, era nerikubwa mu kyapa ky'eggwanga mu October. 

Omubaka Denis Namara ayanjudde ebbago lino mu parliament mu butongole era nerisomwa omulundi ogusooka 


Wabula abuulidde parliament nti ekiwandiiko ekitongole okuva eri ministry y'ebyensimbi ekiraga nti ebbago lino teririna bulabe ku byenfuna by'eggwanga teyakifunye, wadde yawandiikira ministry y'ebyensimbi ng'agisaba okukimuwa.


Omubaka Denis Namara yesigamye ku mateeka agafuga parliament naayanjula ebbago lye, kubanga ennaku ezarambikibwa mu tteeka erifuga emirimu mu parliament liwa ennaku 60 ministry y'ebyensimbi zeerina okuweeramu oba okugabaokuwa certificate eyo nga zino zagwaako nga teyanukudde.


Sipiika Parliament Oboth Oboth ebbago lino alisindiise eri akakiiko ka parliament akalondoola eby'amateeka okutandika okulyekeneenya mu bbanga lya nnaku 45.


Mu bbago lino, ababaka bano bagala okukyusa engeri akulira oludda oluvuganya government gyalondebwamu, negyagobwamu bikyusibwe.


Bagala nti ekibiina ekisinga ababaka mu parliament kyanjulenga amannya 3 eri parliament, ababaka b'ebibiina byonna mu parliament ku  ludda oluvuganya government bagakubeko akalulu okufunako omu, okuggyawo enkola eriwo nti ekibiina ekirina ababaka abangi era ekikulembera oludda oluvuganya government nti era kyekironda akulira oludda oluwabula government mu Parliament.


Ababaka bano era bagala bwekituuka ku kumugoba, ababaka bonna mu parliament bamukubeko akalulu nga bwekikolebwa ku ba minister, so nga n'ensimbi eziweebwa offiisi gyakulembera, emitendera gyayitamu okuzisaasaanya nayo erambikibwe.#