Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kigenda kusiima bannamupiira abazze baweereza omuzannyo guno mu kitundu ekya Western Uganda.

Bamuusimibwa mu ttabamiruka w'ekibiina agenda okutuula mu kitundu ekyo nga 17 October,2026.

Ttabamiruka ono agenda kubeera wa mulundi gwa 102, era egenda kutandika kussaawa 3 ez'okumakya ku Hotel Triangle mu kibuga Mbarara.

Okuva mu 2017 FUFA ezze esiima abakulembeze, abaaliko abazannyi nabantu abawerezza omupiira mu ngeri ezenjawulo, era bano bawebwa engule eya FUFA Presidential Award nga kwotadde n'ensimbi enkalu.

Omwogezi wa FUFA Ahmed Hussein agambye nti kikolebwa okwongera okukuuma ebyafaayo by'omupiira ate n'okujjukira abantu bano amaanyi gebatekamu okuzimba omupiira. 

Ttabamiruka wa FUFA eyasembayo mu 2025 yatuula Hoima. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe