Abadde captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Khalid Aucho, mu butongole alangiridde nti annyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 13 ng'agiwereza.
Khalid Aucho obubaka bw’okunnyuka okuzannyira Uganda Cranes abuyisizza ku mikutu gye emigatta bantu.
Aucho yatandika okuzannyira Uganda Cranes nga 30 November 2013, era azizannyidde emipiira 77.
Agambye nti yenyumiriza nnyo mu ky’okuyambako Uganda Cranes okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2017 e Gabon, nga kyali kitutte emyaka 38 nga Uganda tekiika mu mpaka zino.
Uganda Cranes yakiikirira Uganda mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2019 e Misiri n’empaka ezisembyeyo eza 2025 e Morocco.
Khalid Aucho yebazizza bonna abamukwatiddeko mu lugendo lwe olw’okuzannyira Uganda Cranes omubadde abatendesi, Milutin “Micho” Sredojevic, Sebastien Desabre, Johnathan McKinstry n’omutendesi aliwo kati Paul Joseph Put, Omutendesi kati omugenzi Fred Kajoba, ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, abawagizi, bazannyi banne na bonna ababadde bakwatibwako ensonga za Uganda Cranes.
Khalid Auchi era egenze okulekulira Uganda Cranes ng'abadde teyayitiddwa ku ttiimu eyazannye ne Tunisia ne Libya mu mpaka za AFCON Pamoja Qualifiers omwezi oguwedde ogwa August,2026, n’emipiira egy’omukwano gyonna egyazanyiddwa nga Uganda Cranes ettunka ne DR Congo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment