Abayizi emitwalo 503,055 abeewandiisa okutuula ebibuuzo eby'akamalirizo mu S.4 omwaka guno 2026, batandise okutuula ebigezo byabwe olwaleero nga 12 October,2026.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo eby'akamalirizo ekya UNEB, kitegeezezza nti abayizi abawala bakize ku baana abalenzi obungi.

Abawala bali emitwalo 264,722 byebitundu 53% ate abalenzi bali emitwalo 238,333 by’ebitundu 47% abewandiisa okukola ebibuuzo ku mutendera guno.

Abayizi 906 baliko obulemu obwenjawulo ku mibiri gyabwe.

Abayizi bano baakukolera ebibuuzo mu bifo 4,514 okwetoloola eggwanga lyonna.

Abayizi bonna batandise n'olupapula olw’okubala ate olweggulo baakukola Chemistry.

Dan Nokrach Odongo, ssenkulu wa UNEB, agambye nti wadde ekiseera eky'ebibuuzo kituuse waliwo amasomero agatanaba kuwaayo bubonero bw'abayizi abamu eri UNEB mu bujjuvu, mu nteekateeka eya Continuous Assessment, nga buva mu bigezo abayizi abo byebazze bakola ku masomero gabwe okuva mu S.3.

Dan Odongo, awabudde abakulira amasomero naabayizi okubulirira abayizi okwewala okwenyigira mu bikolwa eby'okukoperera ebibuuzo.

Akola nga minister w'ebyenjigiriza n'emizanyo era avunanyizibwa ku matendekero agaawaggulu, Owek. Dr. JC Muyingo, asabye abazadde okukwasizaako abaana baabwe mukiseera kino, nokubabudabuda mukusoomoza kwonna kwebasanga.

Mungeri yeemu ne minister avunanyizibwa ku byenjigiriza mu bwakabaka bwa Buganda, Owek Cotilda Nakate Kikomeko, ajjukiza abayizi okweyisa obulungi mu kiseera kino ekyebibuuzo, okukuuma obudde n'okwesiga Katonda.

Bisakiddwa: Ddungu Davis