Omuddusi munnauganda Jacob Kiplimo alemereddwa okuwangula emisinde mubunabyalo egya Chicago Marathon, omulundi ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa, akutte ekifo kya 4 mu z'ompaka z'omwaka guno 2026.

Jacob Kiplimo agenze okujja mu misinde gino, nga ye yawangula emisinde egya 2025.

Emisinde gino giwanguddwa munnansi wa Kenya Amos Kipruto, nga ono yakwata ekifo eky'okubiri emabega wa Jacob Kiplimo omwaka oguwedde 2025 ate mu 2024 yakwata ekifo kyakusatu. 

Kipruto emisinde gino agiddukidde essaawa 2:01:09, ate Jacob Kiplimo akutte ekifo eky'okuna agiddukidde essaawa 2:04:18.

Jacob Kiplimo  abadde alwana okuddamu okugiwangula omulundi ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa, olwo abeera munnayuganda ow'okubiri okukikola.

Munnayuganda eyasooka okuwangula emisinde gino omulundi ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa ye Samuel Wanjiru mu 2009 ne 2010.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe