Omulamuzi wa kooti ya City Hall mu Kampala esindise ku alimanda abantu 6 abagambibwa okusangibwa n'empapula eziriko ebigezo eby'akamalirizo eby'ekibiina eky'omusanvu ebya Primary Leaving Examinations eby'omwaka guno 2026.
Abavunaanibwa kuliko abasomesa okuli Dickson Tugeineyo, Deogracious Opio, William George Olwa ne Bruno Lyazi, saako Ismail Madete omuyizi ne Nathan Ssebulonde amanyiddwa nga Jungle era nga naye musomesa.
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa September ne October 2026, abavunaanibwa baasangibwa n'empapula ezigambibwa okuba nga zaaliko ebigezo bya UNEB ebigenda okukolebwa abayizi ba P.7.
Empapula zebaabakwata zazo kuliko ez'ebigezo byonna ebina, ekya Mathematics, Social Studies, Integrated Science ne English.
Abavunaanibwa 2, Tugeineyo ne Ssebulonde, bakkiriza emisango egibasomeddwa mu maaso g'omulamuzi wa kooti, wabula abasigadde abana, Opio, Madete, Olwa ne Lyazi babyegaanye.
Omuwaabi wa government Mercy Yamangusho ategeezezza kooti nti okunoonyereza mu musango guno kukyagenda mu maaso.
Omulamuzi Nicholas Aisu alagidde abavunaanibwa bonna omukaaga okutwalibwa ku alimanda okutuusa nga 19 October, 2026.
Ebigezo bya PLE bigenda kukolebwa ku ntandikwa ya November,2026.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment