Police eragidde abagoba b'emmotoka ezaSino truck okukozesa ennaku ezisigaddeyo okutwala emmotoka zabwe zikeberebwe, ziweebwe ne satifikeeti ezikkiriza okubeera ku nguudo.

Ensalesale eyabaweebwa agwako nga 16 October,2026


Omwogezi wa police y'ebidduka Michael Kananura agambye nti kyebetaga ye Fitness Certificate eraga nti mmotoka zabwe zakebereddwa era ne zikirizibwa okutambula ku nguudo, wabula atabeere nga nsalesale aweddeko naasangibwa ng'avuga emmotoka ezo ekika kya Sinotruck wakukwatibwa era atwalibwe mu mbuga z'amateeka.

Kananula asabye abakulembeze ba taxi okulonkoma taxi zonna ziganyegenya , saako abalina Sino truck okubayambako okugamba ba dereeva okutekesa mu nkola enteekateeka zonna nga bwezirambikiddwa ate bawe n'amateeka gokunguudo ekitiibwa.#