Parliament eyimirizza mbagirawo ekiragiro kya government eky'okukwata buli anaasangibwa ng'atambuza amanda agava mu bukiikakkono bwa Uganda, okutuusa ku lw'okusatu lwa wiiki ejja lwenabaako kyerambika ng'emaze okwebuuza n'okwetegereza ensonga.

 

Ministry y'ebyamasannyalazze n'obugagga obwomuttaka, eragiddwa okuleeta alipoota ekwata ku ngeri ekiragiro kino gye kyayisiddwamu, n’engeri government gy’esuubira okuyamba ku bannansi aboolekedde okukosebwa, olw'okuba ng'abantu ba bulijjo abasiinga bakozesa manda okufumba.

 

Ensonga eno eyanjuddwa akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssennyonyi Besekezi, mw’ategeerezza nti government teyasoose kulowooza ku muntu wa bulijjo ng'eyisa ekiragiro ekyo.

 

‎Ssennyonyi agambye nti nabo bawagira ekyokukuuma obutonde bw'ensi, wabula wateekeddwa okubaawo amakubo ag'okukendeeza ku bbeeyi ya gas n'amasannyalaze government byeyagala abantu bakozese, kubanga ebbeeyi ya gas eriwo kati tesobolwa munaku, so nga nabasobola okusasulira amasannyalaze agafumba batono ddala.

 

‎

‎Mu kwanukula Minister omubeezi ow'ebyamasannyalaze Phiona Nyamutooro, agambye nti kirungi nnyo abantu okwettanira okufumbisa ggaasi, wabula asabye baweebweyo obudde bannyonnyole eggwanga ku nteekateeka ze bataddewo, ezinaajuna abantu ba bulijjo. 

 

‎

‎Wabula okwanukula kwono, tekumatizza Ssennyonyi ng'agamba nti abantu baatandise okukwatibwa olwekiragiro kino, kuba bangi bafumbisa manda, omuli ne parliament yennyini.

 

Wano Sipiika wa Parliament Jacob Markson Oboth waasinzidde  naayimiriza ekiragiro kino mbagirawo, okumala wiiki namba.

 

‎Okusalawo kwa Sipiika kuwadde ababaka akamwenyumwenyu era okusinziira ku mubaka mu Parliament owa Nansana Municipality Zambaali Brasio Mukasa, bannauganda bakyetaaga akadde akawera okubaagazisa okukyuka okudda kukufumbisa gas.


Bisakiddwa: Nnabagereka Edithie