Alipoota mulindwa ekwata ku kupaaluuka kwa dollar ya America n'okunaabuuka kwa shilling ya Uganda , government ya Uganda gyebadde esuubirwa okwanjulira parliament terabiseeko, ministry y'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga ebuulidde parliament nti ekyebuuza ku bitongole ebikwatibwako ebyenfuna n'ebyensimbi, olwo ebage alipoota ng'ejjudde.

Government yabadde etteekeddwa ku lukalala lw'ebiteeso mu parliament okuwa alipoota eno, wabula minister omubeezi ow'ebyensimbi Amos lugoloobi asinzidde mu parliament naagamba nti alipoota eno tenakolebwa era okwebuuza kukyagenda mu maaso.

Sipiika wa parliament Jacob Oboth oboth akaanyiza ne minister Lugoloobi.

Parliament era ebadde esuubirwa okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ekwata ku bisale by'amafuta ebyekannamye nga nabyo kigambibwa bivudde ku bbeeyi ya Dollar epaaluuka n'olutalo lwa Iran ne America.

Nampala wa government mu parliament Dr. Jane Ruth Aceng abuulidde parliament nti ba minister abakwatibwako ensonga eno, baliko ensisinkano gyebagenzeemu okwogera ku nsonga y'ebyenfuna,kwekusaba baweebweyo akabanga bakole ku alipoota zombi.

Sipiika Oboth Oboth bwatyo alagidde ba minister mu bbanga lya wiiki emu, alipoota zombi azitwaleyo mu parliament.


Okupaaluka Kwa ddoola n'okulinnya kwebisale by'amafuta era kiteeberezebwa nti kye kiviiriddeko ebintu ebikozesebwa bannansi nabyo okupaaluuka ebbeeyi, ekintu ekikalubiza obulamu bwa bannauganda.#