Obwakabaka bwa Buganda busiimu eri Olukiiko olutwala abataka abakulu bÓbusolya, olw'ettoffaali lyebatadde ku kutumbula Obuwangwa nE’nnono mu miti emito, nga bayita mu misomo egyenjawulo.


Okuva Obwakabaka lwe bwaddawo mu 1993 enkola entongole eyÁbataka abakulu bÓbusolya okutegeka emisomo mpisa, Nnono nÓbuwangwa yagundiira, ekiwadde omwagaanya Abavubuka okumanya ebikwata ku bika byaabwe.

Bwabadde atongoza Omusomo gwÁbataka Abakulu bÓbusolya ogukwata ku nnono nÓbuwangwa ogulibaawo nga 10.10.2026 mu Lubiri e Mengo,  Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu Bulange e Mengo, nategeeza nti emisomo ku nnono nsulo yaakumanya, naasaba abazzukulu okugujjumbira.


Omusomo guno gwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti "Omubumbirano mu kukuza omwana"


Katikkiro agambye nti wadde Abataka bakoze ekisoboka okutaakiriza Obuwangwa nÉnnono, wakyaaliwo ebitonotono ebyetaaga okulungamizibwa, omuli abazadde okuyigiriza abaana ennimi enzaaliranwa némpisa ezomubantu.


Omukubiriza wÓlukiiko lwÁbataka Omutaka Augustine Kizito Mutumba, ategeezezza nti Omusomo guno gwakuyamba nnyo Abazadde okukuza Abaana abasaanidde era abatuukiridde, songa nÁbasomesa abasinga okumala ebiseera ebingi nÁbaana tebasuuliddwa muguluka.


Ssentebe wÓlukiiko oluteekateeka Omusomo guno Omutaka Nsamba Aloysius Lubega Magandaazi, yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olwokubakkiriza nga okukozesa Olubiri okusomesezaamu Abazzukulu,era ku lwa banne yeeyamye okukyuusa endowooza z'Abazzukulu mu Bika mwebava.#


Bisakiddwa: Kato Denis