Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye akakasizza nga bwatagenda kubeera mabega waabo baayise bannakigwanyizi abaagala okuwaayo ekifo kya city square ekyebyafaayo eri Omugagga Hassan Bulwadda okuzimbako ekizimbe.
Bino Minister Kabuye Kyofatogabye abadde n'abakungu abalala okuva mu kitongole Kya KCCA bwebabadde balabiseeko mu kakiiko ka parliament akavunanyizibwa ku nsonga z'omukulembeze w'eggwnaga.
Babade bagenze kubanyonyola ku ngeri KCCA gyebeteeseteesemu okutangira amataba ne kasasiro mu kibuga Kampala, era ababaka gyebasinzidde okumubuuza waayimiridde ku nsonga y'okuwaayo ekifo kya City Square eri musigansimbi munnauganda.
Kyofatogabye ategezezza nti bamalirizza okuwandiika alipoota gyebagenda okukwanga omukulembeze w'eggwanga nga bawakanya ekiteeso n'okusaba kuno, kubanga ekifo kino kya byafaayo bingi eri eggwanga ne Kampala okutwaliza awamu, nga tebayinza kumala gakiwaayo eri Bamusiga nsimbi.
Minister Kyofatogobye yeerayiridde nti yenna alina ekirowoozo ekigaba ekifo kino aba aliko ekikyamu, era naakakasa nga bwatagenda kuwagira nteekateeka eno.
Gyebuvuddeko president Museveni yawandiikira minister wa Kampala Minsa Kabanda ng'amulagira nti KCCA ekole okunoonyereza okumala n'okwebuuza ku kusaba okwateekebwayo Hassan Bulwadda, ng'ayagala awebweko ekitundu ku City Square mu Kampala azimbeko ekizimbe ekiriko eby'obusuubuzi ne woteeri galikwoleka ebiziimbiddwa mu nkola etaasa obutonde.
Yabalagidde nti bwebamaliriza okwebuuza bamuddize alipoota ku nsonga eyo.
Ku nsonga y'okumalawo amataba mu kibuga naddala mu kiseera kino nga enkuba etonnya, agamba bbo bakoze ogwabwe era tebasuubira mataba kukosa nnyo kibuga Kampala.
Kyoka, Minister Kyofa era akubirizza bannakampala naddala abavuzi be bidduka okusokanga okupakinga enkuba esooke ekye.
Bisakiddwa: Nnabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment