Oluzzi luno luyitibwa Nnaalongo, lusangibwa ku kyalo Nsambwe mu muluka Mumyuka Nsambwe mu gombolola Ssaabawaali mu ssaza Gomba.

Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Gomba, Kituunzi Mugabi Fred Williams, agamba nti oluzzi luno lwabeeranga n'amazzi amayonjo era nga gatukula ttukuttuku.

Annyonyola  nti oluzzi luno lwalingako obulombolombo obwalinanga okugobererwa abantu abaalusenangako amazzi, era ekyaluyambanga okubeerawo mu byeya n'ebisiiboo, ng'amazzi galwo tegakyuse wadde mundabika yalwo.

Buno bwe bulombolombo obwagobererwanga

-Omuntu eyabanga yakava mu nnimiro ng'akyaliko akalimiro teyakkirizibwanga kulukimako mazzi.

-Oluzzi luno balusenangamu na lwendo lwokka.

-Emiti egigwetoolodde nga tegikkirizibwa kusennyebwako nku.

-Temwagyibwangamu nsonzi.

Kiwanuuzibwa nti bwewabangawo aluggyamu ensonzi oba okulusennyako enku naazitwala naazifumbisa, nga lufuukuuka oba nga lusenguka.

Kitunzi Mugabi Fred William agamba nti ensangi zino ebyo byonna abantu bazze babiziimuula mu ngeri y'obwannantagambwako, n'abantu okumala gakola byebagala awatali kusooka kwefimiitiriza, kiviiridde oluzzi luno okuba nga terukyali mu mbeera yalwo bwerwabeeranga.

Mu kiseera kino abatuuze batuuka n'okubulwa amazzi amayonjo, n'okugatambulira engendo empaavu, naddala mu biseera eby'ekyeya.