Ba Jjajja Abataka abakulu b'Obusolya mu Bwakabaka bwa Buganda bakubagizza Obukama bwa Tooro, era bawaddeyo Ente Enjeru n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu nnono ebasangula amaziga n'okulaga Obukama Omukama Omuggya anaalya Engoma, ng'adda mu bigere by'Omukama eyatabaaziddwa Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.
Abataka bakulembeddwamu Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba.
Abataka abagenze e Tooro kuliko; Nnamuguzi Owempologoma, Nnakigoye Ow'ekinyomo, Lwomwa Owendiga, Muteesaasira Ow'engo, Kyaddondo Ow'Envuma, Luwonko Ow'ekiwere, Kasujja Ow'Engeye, n'Omulangira Asadu Bamweyana Katikkiro w'e Kibulala.
, ategeezezza nti Obukama bwa Ddembe okugirunda nga bwe bunaaba busazeewo, era nga kabonero ka Mirembe.
Ente Enjeru ekwasiddwa Musuuga Charles Kaamurasi akulira Ababiito, nga Omukolo guno gubadde mu Kikaari kye Karuzika, Omukama Oyo mwabadde asinziira okulamula Obukama.
Nnamwama ategeezezza nti Obukama bwa Tooro bwaddembe okusalawo eky'okukolera ente ebuweereddwa oba okugirunda nga bwe bunaaba busazeewo, era nga kabonero ka Mirembe.
Musuuga Charles Kaamurasi, yeebazizza nnyooo Obwakabaka bwa Buganda naddala Abataka abakulu b'Obusolya olw'enkolagana ennungi, erimu n'Okulabirira Ababiito okutaliiko muwendo.
Musuuga mungeri eyenjawulo yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda, Olwobumu obwoleseddwa naddala mu mbeera enyiga Obukama bwa Tooro.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment