Ssenkulu wa Centenary bank omuggya Godfrey Byekwaso yeyanjudde embuga, era ng'awerekeddwako gweyaddira mu bigere omuk.Fabian Kasi n'abakulembeze ba bank eno abalala, mu nteekateeka ey'okutwala mu maaso omukago gwa Centenary bank n'Obwakabaka bwa Buganda.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abaanirizza mu nsisinkano ebadde mu Bulange e Mengo.

Katikkiro agambye nti enkolagana n'Obwesimbu Centenary bank byerina eri Obwakabaka, kabonero akooleka okugenda mu maaso mu byenkulaakulana, era naasaba Abantu okusigala nga bagyettanira.

Katikkiro akinogaanyizza nti obuweereza bwa banka obutaliimu bwesimbu eri abateresi tebubaamu lugendo lwa byankulaakulana, neyeebaza Centenary Bank olw'ebbanga eddene  lyeyaakamala n'Obwakabaka, n'ebibala byebafunyeemu.

Katikkiro mu ngeri eyenjawulo yebazizza  Centenary bank olw'okukwasizaako abantu ba Kabaka mu kutumbula ebyenjigiriza, ebyobulimi, ebyobulamu n'obusuubuzi, kyokka naagisaba okusigala nga yekuumidde mu Bantu, kuba bebawaniridde okubaawo kwaayo.


Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti enkolagana ya Centenary Bank n'Obwakabaka mu kiseera kya ssenkulu eyawummudde Omuk. Fabian Kasi ebadde yaabibala, era asabye ssenkulu Omuggya Godfrey Byekwaso Okwongera kwebyo Omuk Kasi byalese.


Ssenkulu wa centenary Omuggya Godfrey Byekwaso yeebazizza Obwakabaka olwenkolagana ennungi ne Bank ,era naye yeeyamye okusigala ng'akolagana nabwo bulungi.


Centenary Bank ekiise Embuga n'Ensimbi Obukadde butaano okuyambako mu nzirukanya y'Emirimu gy'Obwakabaka ,songa ye ssenkulu Omuggya Godfrey Byekwaso awaddeyo akakadde ka shs kamu ku lulwe ng'Omuntu.

Bisakiddwa: Kato Denis