Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Bboodi empya ey’ekitongole kya Buganda eky’ebibalo-Buganda Statistics Unit, era  n’asiibula enkadde ebaddeko okuva ekitongole kino lwekyatandikibwawo emyaka 12 egiyise.

Yeebazizza nnyo Bboodi enkadde ebadde ekulemberwa Omuk. Dr. Eria Keresipo Zaake Ssemwendero olw’okukola obutaweera okutuukiriza ebigendererwa eby’akitandisaawo.

Katikkiro agambye nti okuva ekitongole kino lwekyatandikibwawo, enteekateeka za Buganda Nnamutaayiika zitambulizibwa ku mbeera nga bwebeera mu kitundu nga beesigama ku bibalo ebituufu.

Asibiridde  Bboodi empya ekulemberwa Omuk. James Muwonge entanda y’okunyweza ebyo ebituukiddwako n’okwongerako nga batambulira mu buwuufu bwa Bboodi enkadde.

Yeebazizza nnyo ekitongole ky’ebibalo ekya gavumenti eyaawakati olw’obuyambi bwonna bwekiwadde Obwakabaka naddala okuweereza abakugu okutendeka abaweereza ba Kabaka mu bibalo, basobole okukola omulimu mu ngeri y’ekikugu.

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa akulira obutereevu ekitongole kino, mu bubaka bwatisse Owek Noah Kiyimba alaze obukulu bw’okutegeera obulungi ebibalo mu nkola y’emirimu n’agamba nti kiwa ekifaananyi ekituufu, emirimu negikolebwanga sigyakuteebereza.

Abadde ssentebe wa bboodi ewummudde, Omuk Dr. ESK Zaake yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka, ku lulwe ku lwa banne olw’okubawa omukisa nabo nebaweereza  Nnamulondo.

Ssentebe omuggya Omuk. James Muwonge yeeyamye okuweereza mu bwesimbu n’obwanjulukufu nga batambulira ku buwabuzii bwa Katikkiro bakole omulimu ogubasuubirwamu.

Ssenkulu w’ekitongolekya Government eyaawakati eky’ebyebibalo Dr. Chris Mukiza Ndatira yeenyumirizza nnyo mu nkolagana ya UBOS n’Obwakabaka bwa Buganda, n’asuubiza nti enkolagana eno yakugenda mu maaso.

 Obubaka bwa Mukiza busomeddwa Lutalo Thomasa omukungu wa UBOS n’agamba nti baakuyamba nnyo Bboodi empya okunyweza ebikoleddwa n’okwongera okubawa amagezi mu ntambuza y’emirimu.

Abawummudde wabeereddwa amayinja agabasiima obuweereza.

Mu mbeera yeemu Katikkiri atongozza ne Nnamutaayiika w’ekitongole kino owa 2026-2030.

Bboodi empya eriko Omuk. James Muwonge nga Ssentebe amyukibwa Omuk. Agness Ssekiboobo Nanziri, ba mmemba ye; Winfred Namubiru, Betty Nawova, Prof. Fredrick E Makumbi, Patricia Ndugga ne Winfred Nankya Mukalazi.


Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka