Ttiimu z'eggwanga ez'omupiira ogw'okubaka okuli ey'abakazi eya She Cranes ne ttiimu ey'abasajja eya The Rock, zigenze Nairobi  okuvuganya mu mpaka za Africa Netball Championships ez'omwaka guno 2026.

Empaka zino zigenda kubeerawo okuva nga 19 okutuuka nga 26 September, era ttiimu zasibuddwa aba National Council of Sports.

She Cranes egenze ne ttiimu y'abazannyi 14.

Eri mu kibinja B ne Zimbabwe, Botswana, Zambia ne Tanzania. 

She Cranes egenda mu mpaka zino ng'erwana okuwangula ekikopo kino omulundi gwayo ogw'okuna. Yasooka kukiwangula mu 2014 e Botswana, mu 2017 mu Uganda ne 2018 e Zambia. 


Abamu ku bazannyi abagenze ne She Cranes ye captain Racheal Nanyonga, Margaret Baagala, Shadia Nassanga, Joan Nantumbwe, Annet Namuddu, Christine Namulumba, Shafie Nalwanja nabalala. 

Ttiimu ya basajja ey'okubaka eya The Rock, mu mpaka zino eri mu kibinja ne Kenya, South Africa, Eswatin ne Malawi, nga nabo bagenze abazannyi 14.

Ttiimu zino zitambulidde mu Bus okugenda e Nairobi.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe