Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula ku musajja we Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, namuyozaayoza okutuuka ku kkula ery’Emyaka 100.

Ssaabasajja Kabaka asinzidde mu maka g’Omutiibwa Wamala e Nsambya, nagamba nti omujaguza musajja wanjawulo nnyo, kuba mwesimbu ate anywerera ku Mazima.


Omutiibwa Emmanuel Caldinal Wamala mu bubaka obusomeddwa Father Gerald omuyambi we, yebazizza Ssaabasajja Kabaka okusiima n’amukyalirako , era amwebazizza olw’Obukulembeze obulungi, obujjuddemu enkulaakulana , n’Obumu.



Bisakiddwa: Kato Denis