Ttabamiruka w’ekibiina kya People's Front for Freedom asookedde ddala bukyanga kitondebwawo atudde ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala, n’omulanga eri banna kibiina okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri y’ekibiina n’ebigendererwa byakyo mu bantu.

Olukungaana luno olwa National Assembly lwetabwamu abakulembeze b’ekibiina okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo, okwogera ku mbeera y'ebyobufuzi bwetambula n’okuyisa embalirira y'ekibiina n'okulambika ebiruubirirwa byebalina omwaka oguddako.

Amyuka omukulembeze wa PFF mu Buganda Dr. Lulume Bayiga agambye nti olukungaana luno lwayitiddwa okuttaanya ku nsonga ezibadde zibuzaabuza bannakibiina,  nti ekibiina kino kyogerezeganya ne government ku nsonga za bannakibiina babwe abali mu makomera, okuli  Dr.Kiiza Besigye ne Ssalongo Erias Lukwago.

Mu ngeri yEemu agambye nti bangi ku bagoberezi babwe babaDde tebamanyi ssemateeka w’akibiina kino nga ababade balina okuyitibwa bongere okunyonyoka emiramwa gy’ekibiina.

Ssentebe w’ekibiina kya PFF mu ggwanga lyonna Amb. Wasswa BirigGwa akikaatirizza nti tebalina nteseganya zonna ng'ekibiina ne government ku nsonga y’okuyimbula Besigye bagala amateeka gagobererwe.


Bisakiddwa: Lukenge Sharif