Olukiiko lwa bataka  lwanjuliddwa bakatikkiro b'ebika okuli ow’ekika ky'Emmamba n'Engabi Ennyuunga,  n’omulanga eri abakulembeze mu bika okufuba okukulaakulanya ebika byabwe .

 

Bakatikiro abanjuddwa  kuliko Katikkiro w'Engabi Ennyunga era ssenkulu wa Nyunga Foundation, Muyunga Steven wamu ne Katikkiro we kika ky'Emmamba  Munnamateeka, Denis Bugaya n'omumyuka we Gabriel Kabonge.

 

Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka era omukulu w’ekika ky'Ekkobe, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, bwabadde ayogera eri olukiiko luno ku mbuga enkulu ey'Obwakabaka Bulange Mengo, akuutidde abakulembeze mu bika okutandikawo enkulakulana ezenjawulo.

 

 

Omutaka Namwama era akuutidde abazzukulu okukozesa obukugu bwebalina okukulakulanya ebika byabwe, n'okwettanira enkola eya Tekinologiya.


Omutaka  Kiwana Daniel, omukulu w'ekika ky'Engabi Ennyuunga, yayanjudde Katikkiro we munnabyanjigiriza Muyunga Steven eri olukiiko lwa Ssaabattaka, era ono olumwanjulidde eri olukiiko yeeyamye okuwa buli kika Bursary 500, okuyita mu Nyuunga Foundation, okubangula bazukulu ba Buganda .

 

 

Omutaka Gabunga owa 38 Ziikwa Mubiru IV, akulira ekika kye Mamba, ayanjudde KatiKkiro we  Munamateeka Denis Bugaya , mu lukiiko luno, era olumwanjudde neyeewera okukola Obutaweera okukulakulanya ekika n'okuzza Buganda ku ntikko.

 

 

Bakatikkiro abaawummula mu kika ky'Emmamba nga bakulembeddwamu omutaka Mulindwa Luyombo Joseph Kagenda, omukulu w'essiga lya Kagenda, e Mawokota, abawerekedde ku Bugaya, asabye ebika byonna okwongera okunyweza Obumu .

 

Bisakiddwa: Nakato Jenniffer