Essaza lya Ekeleziya erya Masaka ly’ongedde amaanyi mu kaweefube owokunoonya akawumbi kénsimbi kamu nékitundu akagenda, okukozesebwa okuzimba ekizimbe galikwoleka ekigenda okubbulwamu Ssaabepisikoopi omuddugavu eyasooka mu mawanga agali wansi w'eddungu Sahara, omugenzi Archibishop Joseph Kiwanuka.


Yatuuzibwa mu 1939, era nga 2039, lwejiwera emyaka 100 beddu bukyanga atuuzibwa


Ekizimbe kino kizimbibwa ku lutikko e Kitovu era nga kituumiddwa Archbishop Kiwanuka empowerment Centre.

 

Mu buufu obwo essaza eryo litegese ekyeggulo ekigenda okubeera ku  Sheraton hotel mu Kampala enkya nga 01 October,2026, nékigendererwa ekyokusonda ensimbi ezo.


 Omusumba wé Ssaza lya Ekeleziya erya Masaka Serverus Jjumba akiise embuga,naayanjulira Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga enteekateeka z'ekyegggulo kino. 

 

Omusumba Jjumba ategeezezza nti Ssaabepisikoopi Joseph Kiwanuka yakola kyámaanyi okutumbula embeera zábantu ngákola ebintu ebyenjawulo mu byobulamu, ebyenjigiriza ebyéddiini nebirala nti era kikulu okumujjukira nga bateekawo ebintu nga ekizimbe kino okutwala omukululo gwe mu maaso.

 

 

Katikkiro Charles Peter Mayiga waasinzidde naasaba abantu bonna abomutima omulungi okudduukirira omulimu guno.

 


Katikkiro era asabye abantu abatagenda kusobola kugenda ku  Sheraton hotel ewategekeddwa okusonda ensimbi, obuyambi bwabwe  babuweereze ku account number eri mu bank eya

 MASAKA DIOCESE CATHEDRAL 3200668352 - mu Centenary bank.


Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus