Katikiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okunyikiza enkola eya Bulungibwansi okutandikira ddala ku mubiri gwabwe nga beyonja, n'okuynja ebitundu mwebabeera, kiyambeko Buganda okubeera n'abantu abalamu abasobola okwekulaakulanya n'okukulaakulanya Obwakabaka.

Katikiro  abadde mu Katale ka Ssabasajja e Mengo mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, gyatongolezza  Wiiki ya Bulungibwansi, ekulemberamu  emikolo gyo kukuza Olunaku lwa Gavumenti ez’ebitundu ne Bulungibwansi mu Buganda.


Olunaku luno lubaawo buli nga 08 omwezi ogwekkumi,okujjukira olwa nga 08 October,1962 Buganda lweyakwasibwa obwetwaze bwayo okuva mu Bangereza abakuumi b'amatwale.


Olunaku lw'omwaka guno 2026 lugenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti  Tokolere wamu Okusitula Omutindo gw'enkola ya Bulungibwansi n'obukulembeze bw'ebitundu ku lwa Buganda ey'enkya.


Katikiro bwatuuse mu katale ke Mengo asoose kukola Bulungibwansi oluvanyuma naakuba engoma Ssaagalaagalamidde, ng'akabonero akalaga nti atongozza Wiiki ya Bulungibwansi, asimbyemu n'omuti mu Katale n'oluvanyuma nayogerako eri abantu ba Buganda.


Mungeri yemu Katikkiro asabye abantu okwongera omutindo ku Kasasiro nga bamwawula okusobola okumukolamu ebintu ebirala eby'omuwendo, era nabasaba n'obutamansamansa kasasiro buli webasanga .

Minister wa Bulungibwansi Obutondebwensi, amazzi n'ekikula ky'abantu Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti mu Wiiki ya bulungibwansi ebintu binji ebigenda okukolebwa, Omuli emisomo ku bulungibwansi ,Bakukola Mayiro ya Bulungibwansi ,Okutona amakula ga Kabaka n'ebintu ebirala bingi.

Minister wa Gavumenti ez'ebitundu Owek Joseph Kawuki asabye abantu ba Kabaka okutwala enkola ya Bulungibwansi ng'ekintu kya bulijjo ku bulamu bwabwe, bakikole awatali kukakibwa.


Amyuka akulira Olukiko Olukulembera ekitongole ekiddukanya Obutale bwa Kabaka ki Rexber Owek Isaaca Mpanga agamba nti Obutale bwa Kabaka buyambye okutondawo emirimu eri abantu wamu n'okufuna abavujirizi abenjawulo.


Bisakiddwa: Nakato Janefer