Katikkiro wa Buganda Charles peter Mayiga asabye abakyala okwegatta ku bibiina bya CBS PEWOSA kibayambe okusitula omutindo mu Bintu eby’enjawulo byebakola.

 

Katikkiro aby’ogeredde   Kibibi mu Butambala bwabadde atongoza enteekateeka y’ensimbi za Grow obuwumbi butaano ( shs 5 b) okuva mu government eya wakati, ezigenda okuwolebwa  abakyala mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.

Ensimbi zino ziyisiddwa mu kibiina kya Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO nga Kiri wamu ne banna mukago aba World Bank, government eyawakati ne Private Sector Foundation Uganda.

Katikkiro Charles Peter Mayiga era Asabye abaami okukwasizaako bakyala baabwe batandikewo emirimu egivaamu ssente kiyambe e ggwanga okusituka mu byenfuna.

 

Kamalabyonnna era asabye abaddukanya Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO okubeera abeerufu nga baddukanya ensimbi za Grow baleme okuswaza Obwakabaka.

 

Minister w’ebyobulimi, Obulunzi n’obwegassi Owekitiibwa Hajji Hamis Kakomo asabye aba Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO obutakaluubiriza bakyala baagala kwewola Nsimbi za grow.

 

Akiikiridde omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ekikula ky’abantu John Ssengendo asuubizza nti government y’akwongera Okuteeka ssente mu kusitula embeera z’abantu ba Buganda, kubanga bakola ky’amaanyi mu kusasula emisolo egikozesebwa okuddukanya e ggwanga.

 

Omukwanaganya w’enteekateeka ya grow mu ggwanga Dr.Ruth Biyinzika Kasolo asabye bonna abalina obuvunaanyizibwa okuweereza banna Uganda okutumbula embeera z’abantu,  nga tebafudde ku bibiina oba e Ddiini zaabwe .

Asabye abakyala okukozesa obulungi ensimbi zino beggye mu bwavu.

Ssentebe wa board ya Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO era nga ye ssenkulu wa CBS omukungu  Micheal Kawooya Mwebe, agambye nti enkola ya CBS PEWOSA byebimu ku bibala CBS byeyenyumirizaamu mu myaka 30 gyemaze ng’eweereza ensi saako okusitula obulamu bw’abantu bangi.

 

Omukungu Kawooya era agambye nti PEWOSA egenderera okusitula  abakyala mu byenfuna nga eyita mu kubawola ensimbi zebazzaayo n’amagoba amatono  ddala,

Asabye abakyala abali mu Ssaza Butambala okugyettanira kubanga tekontana na Busiraamu, mu ngeri yeemu agambye nti essira balitadde ku kukozesa tekinologiya okwewala abafere.

 

Omwami wa Kabaka ow’e Ssaza Butambala Katambala Hajji Sulaiman Magala asabye Obwakabaka okubunyisa enkola ya Grow mu bitundu bya Buganda byonna.

 

Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus