Police ya Uganda ekutte abantu 16 omuli nabamu ku basirikale baayo ku bigambibwa nti baafeze musigansimbi okuva mu ggwanga lya Dubai, obukadde bwa dollar za America 4.
Kigambibwa nti bano babadde bateekateeka okuggya ku musigansimbi obukadde bwa dollar za America obulala 4, nga bamusuubiza okumuwa zaabu.
Bakwatiddwa okuva mu kampuni ya Real sanix Limited, nga kuliko abasirikale ba police 4 abakwatiddwa mu bufere buno okuli Kulutu Ayub, Amurutu Lazak, Waisa Benon ne Waisa Sirage.
Abantu babulijjo abakwatiddwa ye Assimwe Moses nga kigambibwa nti yeyakulemberamu olukwe lwonna olw'okufera bamusigansimbi bano, abalala ye Libenge Rogers nga ono munnasi wa Congo, kajjubi Geoffrey, ,Ajambo Bright, Masamba William, Walusiimbi Joseph, Aman Patrick, Kagalula Deken, Mbasa Taboma nabalala.
Kigambibwa nti musigansimbi ono okuva e Dubai baamukakasa nga bwebalina zaabu gwayagala, nga ye ogugwe gubeere gwakubanonyezea ssente era bagenda mumutusaako butereevu.
Wabula kigambibwa nti okuvannyuma lw'okubawa sente yakanya kulinda nga tewali kivaayo, sso nga ne Asiimwe Moses agambibwa nti yeyakulemberamu enteekateeka zonna ng'amubuzabuza.
Omwogezi wa police mu ggwanga Kituuma Rusooke abadde mulukungana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Naguru, nategeza nti abamu kubasirikale babwe abakwatiddwa bagenda kufuumulwa mu police singa obujjulizi bubaluma.
Kituuma asabye bamusigansimbi bonna okukozesa amakuubo amatuufu n'ebitongole ebyatekebwawo okubayamba, okuli akakiiko akakulemberwa Col Edith Nakalema aka State House Investors Protection Unit ne birala okwewala okubbibwa.#
Comments (1)
Leave a Comment