Entanda ya Buganda Diaspora eya 2026, eyetabwamu abantu ba Kabaka ababeera ebweru wa Uganda, egyiddwako akawuuwo nga 05 September.


Bavuganya mu bumanyi bw'olulimi oluganda,Óbuwangwa, nga byesigamiziddwa ku mbeera za bulijjo,Tekinologiya n'ebyafaayo.


Entanda Diaspora etegekebwa buli mwaka okuyita ku mayengo ga Radio yÓbujjajja 88.8 CBS FM.


Waliwo Entanda Toto yetabwamu abaana abato.m n'Entanda yÁbakulu, era omuwanguzi abuukawo afuna ekyapa kyÉttaka, olwo abalala nebagoberera nébirabo ssemalabo.

Entanda Diaspora 2026 ekubirizibwa abakugu mu Lulimi Oluganda omuli Muzzukulu wa Mugema Ssali Damascus, Abalamuzi okuli Ssozi Kirwaana, Samula John Paul Magembe, Lubega Ssebende nÁbalala era nga yakubeerayo mu budde obwe kiro.

Omu ku batesiteesi bÉntanda ya Buganda omugwa Entanda Diaspora Ssali Damascus Muzzukulu wa Mugema asabye abamegganyi mu mawanga yonna gyebali okukuuma ebiseera ,baleme kufiirwa mukisa.


Ssali Damascus ategeezezza nti okuvuganya kwÓmwaka guno kugenda kuba kwanjawulo nnyo ku kuvuganya okwali kubaddewo, kuba wagenda kubaawo okuvuganyiza mu Masaza gonna.


Entanda y'abali wano mu Uganda yakutandika nga 05 October,2026 ku mpewo zeezimu eza CBS 88.8.


 Entanda ya Buganda 2026 yatongozebwa  ku ssomero lyÓmuzira mu bazira owa 2009 Ronald Mulondo, erya St Peter’s SS Bombo Kalule, era abavubuka  baakubirizibwa okugyettanira, bawawule okumanya kwabwe ate bawangule n'ebirabo.


Bisakiddwa: Kato Denis