Abalonzi mu kitundu kya Adjumani West, baddamu okulonda omubaka ow'ekitundu ekyo, okujjuza ekifo ekyalimu omugenzi Gen.Moses Ali eyafa nga yakaddamu okulondebwa ku kifo ekyo, mu kalulu akaaliwo mu January,2026.

Akakiiko k'eggwanga akalezi k'eddembe ly'obuntu kasabye ebitongole by'eggwanga ebyobyokwerinda bireme  kwenyigira n'okulaga kyekuubira mu kalulu kano.


Crispin Kaheru commissioner mu kakiiko k'eggwanga ak'eddembe ly'obuntu nga kekamu akali ku mulimu gw'okulondoola okulonda kuno, agambye nti obululu bungi obuzze bubaawo, ebitongole byebyokwerinda bwebuze bwenyigiramu nga byekubiira ku ludda lw'ebibiina ebimu.

Kaheru mukwogerako nebannamawulire agambye nti mu kalulu kolunnaku olwa leero nga 17 September,2026, tebeetaaga kulaba abebyokwerinda nga bakwata abawagizi b'abesiimbyewo  nga bwebaze bakola mu bululu obumu, buli muwaguzi alekebwe eddembe lye alonde omuntu gwayagadde 


Okusinziira ku kakiiko k'eby'okulonda, abalonzi  bali 51,437.

Ebifo ebironderwamu biri 114.

Abantu babiri okuli munnaNRM James Leku Piri ne Gasper Draga atalina kibiina bebavuganya, ku kifo ky'okuddamu okulonda omubaka wa Adjumani West.