Abakulembeze ba district ye Nakasongola bataddewo kalantiini okuziya okutambuza n'okutunda ennyama y'ebisolo yonna okumalira ddala omwezi mulamba  okutangira okusasaana kw'ekirwadde kya Kalusu oba Food and Mouth Disease.

Kalusu yaluumba district ye Nakasongola mu August,2026, era kizze kisaasaana okwetoloola distrixt.

Abakulira eby'ebisolo mu distrixt bagamba nti ente ezisoba mu 50 zifudde ate 1300 zezizuuliddwamu obulwadde.

Akulira eby'ebisolo e Nakasongola Dr.Samuel Esagu agambye nti obutale bwonna buggaddwa okumala omwezi mulamba, nga bwebekenneenya ebisolo, saako okugemesa ensolo zonna.

Kalusu buli mwaka azze akosa amagana, okuzingamya obutale n'okufiiriza abalunzi n'abasuubuzi b'ebintu ebiba mu nsolo.

Mu mwezi gwa June 2026, ministry y'eby'obulimi n'obulunzi yatandika kaweefube ow'okukwasizaako abalunzi okugema ebisolo byabwe ekirwadde kya kalusu, ng'abalunzi basasula ensimbi entonotono.

Ddoozi y'ente n'embizzi buli omu, esasulibwa ku shs 8000/=, ate embuzi n'endiga za shs 4000/= buli emu.

Bisakiddwa: Taaka Conslanta