Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Basekezi Ssenyonyi n'ababaka abalala bakonkamalidde ku mulyango bwebabadde bagenze okulambula omulimu gw'okuzimba eddwaliro  lya Lubowa Specialised Hospital wegutuuse.

Government eddwaliro lino erya Lubowa Specialised hospital erisangibwa mu district ye Wakiso, yalikwasa musiga nsimbi Enrica Pinetti.

Lyatandika okuzimbibwa mu mwaka 2019, nga government ya Uganda yalisaamu ensimbi Trillion emu n'ekitundu, ng'egamba nti bweriba liwedde lijjakuba lisobola okuwa obujjanjabi obuli ku mutendera gw'ensi yonna, n'okutaasa bannauganda abagenda  mu mawanga g'ebweru okunoonya obujjanjabi.

Akulira  oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi n'ababaka abalala tebakkiriziddwa  kuyingira mu kikomera omuzimbibwa eddwaliro lino eriamze emyaka egisoba mu 6 nga lizimbibwa.

Ssenyonyi  ategezeezza nti yawandikira Minister w'ebyensimbi n'abakulu mu Ministry  y'ebyobulamu okubategeeza  ku nteekateeka yabwe ey'okulambula eddwaliro, era nebamuwa n'ebbaluwa ebakkiriza okulambulayo, naye kibabuseeko okutuukayo nebalemesebwa okuyingira, bakanyizza kukonkona nga tewali abawuuna. 

Ssenyonyi agamba nti abali ku mulimu guno bandibaako kyebakweka ,wabula yeweze nti siwakuweera okulondoola emirimu government gyesasanyizaako ensimbi z'omuwi w'omusolo.


Ababaka  okubadde owa Nansana Municipality Zzambaali Bulasio Mukasa ,owa Nyendo Mukungwe  Lubowa  Ssebina Gyaviira saako Bukoto South Kizza Hakim Sawula bagamba nti ekiseera kituuse government ebulire banayuganda ekituufu ekigenda mu maaso mu kifo ewaziimbibwa eddwaliro, kubanga emyaka gyekulunguludde nga buli ababaka lwebagendayo okulambulayo nga tebakkirizibwa kuyigirayo.



Kinajukirwa nti enfunda eziwera ababaka saako ba Minister mu government balemesebwa okulambula eddwaliro erizimbibwa, nga n'lunaku olumu ababaka abaali bagenze okulaba ebikolebwa baategezeebwa nti baali bakyabafunira magetisi ezibatuuka okusobola okutambulira mu kifo ekyo, n'oluvanyuma balyoke bakkirizibwe.


Bisakiddwa: Julius Ssebuliba