Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll alabudde ku nsonga y'abasawo bannauganda aboongedde okuddukira mu mawanga amalala olw'okuweebwa omusaala omutono mu Uganda, nti kyakwongera okukuumira emabega eby'obulamu bwa bannauganda.
Agambye nti ensonga eno erina okunogerwa eddagala, omuli okutereeza embeera abasawo mwebakolera, okwongera ku muwendo gw'abasawo mu malwaliro, ate n'okubawa omusaala ogusaanidde.
Obubaka abutisse Omulangira Shaikh Khalifan Kakungulu bw'abadde atongoza olusiisira lw'ebyobulamu olwa "Tubeere Balamu Health Campaign" olugenda okumala ennaku bbiri nga luyindira mu ssaza Bugerere, ku kitebe ky'egombolola ya Mumyuka Kangulumira.
Ssabasajja Kabaka era asiimye ekitongole kye ekya Kabaka Foundation ne ministry y'eby'obulamu mu Buganda olw'amaanyi agateekeddwa kukusomesa abantu okwewal endwadde.Asiimye Abasawo, Bannadiini n'abantu abalala abakoze obutawerwa okujanjaba abantu endwadde ezenjawulo.
Omutanda mu bubaka bwe ajjukiza abantu okwongera okwewala siriimu, okwekebeza Nnalubiri ng'abantu tebanayagalana kutuuka kuzaala baana, ate ne kkookolo w'akatungulu k'abasajja abakuze nti naye yeyongedde okwegiriisa.
Minister w'ebyobulamu mu Buganda Owek Cotlida Nakatte Kikomeko asabye abantu okwanguwanga Okugenda mu ddwaliro okubajjanjaba eddwadde nga Tezikola bulabe bwa maanyi ku mubiri.

Ssentebbe wenteekateeka y'okulongosa abantu ba Kabaka, Prof Dr Moses Galukande ayakulemberwamu ekitongole ekigata abasawo abalongosa Ki Association of Surgeons of Uganda ategezeza nti okuva ku Sunday okutuka olunaku olweggulo abantu abantu abasuka mu 900 be bakalongosewa nga 36 basindikiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala enteekateeka eno ey'okulongosa abalwadde mu nkola ey'olusiisira yakukolebwa ne mu Masaza amalala 6

.Omwami wa Kabaka atwala essaza Bugerere Mugerere Samuel Ssemugoma yeyanziza nnyo Ssabasajja Kabaka olw'enteekateeka y'okujjanjaba abantu,naagamba nti abantu bwebaba abalamu emirimu bakolera ddala, n'okuleetawo enkulaakulana.
Oluvanyuma lwe Omulangira Kalifan okutusa obubaka bwa Kabaka alambudde eddwaliro lya Kayunga Regional Referral Hospital nabuza nekubalwadde ababadde bagenda okuloongosebwa.
Bisakiddwa: Nakato Janefer Lwantale
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment