Omuguta gw'Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV gugyiddwa  ku Lutikko ya St Johns Cathedral kabalole ku ssaawa Munaana n'eddakiika  12, era gutuusiddwa mu kifo wagalamiziddwa mu Magasane Karambi Kabalole mu kibuga Fortportal ku ssaawa Mwenda N'eddakiika 20.

Gibadde giweredde ddala emyaka 31 egijjudde okuva Omukama Oyo lweyatuuzibwa ku ngomba y'abajjajjabe, nga 12 September,1995,nga mu kiseera ekyo yali aweza egy'obukulu 3 gyokka.

Emyaka 30 egiyise olunaku luno olwa nga 12 September, lubaddenga lwakujaguza Empango y'omukama Oyo, wabula ku mulundi guno lubadde lwa maziga,kukunguba, n'okumuziika.

Omukama Oyo Rukidi IV afiiridde ku myaka 34 egy'obukulu oluvannyuma lw'okumala omwaka mulamba ng'atawanyizibwa ekirwadde kya Kookolo.

Maama w'Omukama Oyo, Best Kemigisha agambye nti Omukama yayandika okuwulira obulumi mu mugongo mu mwezi gwa June 2025 era nagenda mu ddwaliro afune obujjanjabi naye natafunawo njawulo, okutuusa lweyagenda mu Agakhan hospital Nairobu mu Kenya gyebaazuulira nti kyali kirwadde kya Kookolo kyekyali mutawaanya, era nga kyali kikulira ku misinde miyitirivu.

Yatwalibwa mu ddwaliro e Germany okutandika obujjanjabi bwa Kookolo, okumala emyezi 5, wabula nga kyeyongera bweyongezi, era nayo yagyibwayo mu February wa 2026 naatwalibwa mu USA okwongera okujjanjabwa.

Mu mwezi gwa August ng'abasawo balaba afunyeewo enjawulo baali basazeewo asiibulwe afunenga eddagala ng'ava waka buli luvannyuma lwa kiseera.


Omugo Best Kemigisha ategezeezza nti ate olunaku lweyali agenda okusiibulwa okuva mu ddwaliro obulwadde bwayongera okutabuka nassibwa ku byuma, okutuusa lweyassa omukka ogw'enkomerero ku ssaawa nnya ez'ekiro nga 27 August,2026.


Ng'ennaku z'omwezi 04 September, Omuguta gw'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV gwakomezebwawo mu Uganda, era olw'omikolo egy'okumukungubagira nejitandika okumala ennaku 9, okutuusa lwaziikiddwa nga 12 September,2026.


Abantu b'Omukama wakati mu kumusabira baweereddwa Emiti bagisimbe ng'ekijjukizo.Obulabirizi bwe Fort portal butaddewo Ettaka yiika 95 okugenda okusimbwa Ekibira ,nga akabonero k'okujjukira Omukama Oyo Rukidi IV.