Abantu 6 basunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda mu district ye Dokolo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament  omukyala owa district eno.

Dr.Ogwal Rosemary owa FDC era muwala w’omugenzi Cecilia Ogwal

Ekifo kino kyasigala  kikalu oluvannyuma lweyali omubaka wa district eno Cecilia Ogwal Atim eyali owa FDC okufa mu January wa 2024.

Adongo Janet Rose owa NRM

 Abasunsuddwa ku lunaku olusoose kuliko Adongo Janet Rose owa NRM, Alwoc Austin Ogwal Rosemary owa FDC ,Aguti Sarah owa UPC , Akullo Esther-Obot atalina kibiina ,  Ageno Harriet owa NUP saako  Lalam Grace Hanna atalina kibiina

Okusunsula kw’abagala ekifo kino kwakumala ennaku bbiri, olwo okunoonya akalulu kutandiike mu butongole ku wednesday nga 13 okutuuka nga 19  March,2024.

Akalulu k’okujjuza ekifo ekyo, kakukubwa ng’ennaku z’omwezi 21 March,2024.#