Abayizi 2920 bamalirizza emisomo gyabwe  okuva ku Uganda Martyrs University e Nkozi ku matikkira ag'omulundi ogwa 32, essira liteekeddwa ku kuteekateek abayizi okutandikawo emirimu emitonotono gyebasobola okulabirira obulungi nga bagyongerako omutindo.

Baweereddwa aamagezi okweyambisa ebintu ebibeetoolodde mu bitundu okubyongerako omutindo, nga bakozesa technology ow'omulembe.

Abayizi abatikiddwa bafunye ebbaluwa eziri ku ddaala erya diploma, degree esooka neyokubiri gattako nebannaabwe 9 abafunye degree eyokusatu oba PHD.

Ku mukolo oguyindidde ku kitebe kya Uganda Martyrs University e Nkozi mu district ye Mpigi, minister omubeezi ow'ebyentambula mu ggwanga Fred Byamukama nga yabadde omwogezi Omukulu, asabye abatikiddwa obutadda mukulowooleza mu mirimu gya government nti wkubanga terina sente zimala kukozesa bayizi bonna abafuluma.

Mungeri yeemu, minister  asabye abatikiddwa obutadda kumikutu migatta bantu kunenya government, nti olw'okuba enkyukakyuma nnyinvi ezigenda mu maaso mu nsi yonna ezireetedde ebintu bingi okukyuka.

Abasabye obuterabira kusiga nsimbi mu byalo gyebasibuma.

Amyuuka Chancellor wa Uganda Martyrs University nga ye Professor Patrick Edwin Kyamanywa akuutidde abatikiddwa okuba abayiiya, okuba abempisa ate nabasaba bakozese obukodyo bwebafunye okugatta omutindo kubikolebwa, n'okutumbula enkulaakulana y'ebitundu.

Omusumba wessaza lya Kiyinda Mityana era nga ye Chancellor wa university eno,  akuutidde abatikiddwa okufuba ennyo okukyuusa embeera z'abantu bebawangaala nabo.

Omusumba ey'essaza lye Masaka Bishop Severus Jjumba nga yakulembeddemu mmisa naye akuutidde abayizi abo okutumbula obwenkanya n'emirembe mu ggwanga.

Mu bamu ku batikiddwa mubadde abaweereza mu bitongole by'obwakabaka okubadde Sam Mubiru ow'ekitongole ekye Nkuluze wamu ne Juliet Namubiru okuva mu ekitongole eky'amawulire ekya Cbs Radio ngoono afunye degree eyokubiri mu bya business.

Bisakiddwa: Patrick Sserugo