Nabbambulira w'omuliro akutte Ivory hotel e Nansana mu district ye Wakiso, era abantu abawera basimattuse.
Omuliro guno gutandikidde waggulu ku kasolya ka woteeri eno, era abantu ababadde basuzeemu n'abalala ababadde bagenze okwota omuliro mu Sauna, balabiddwako ng'abamu bayita mu madirisa okutaasa obulamu.
Police y'abazinnyamwoto eyitiddwa era etuuse mangu n'emmotoka 8 ezizikiriza omuliro.
Ekivuddeko omuliro okukwata tekinamanyika, wabula nga waliwo ebigambibwa nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze agabadde gamaze ennaku 2 nga tegaliiko mu Nansana, ate olukomyewo gazze na maanyi.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment