Speaker

Joel Besekezi Ssenyonyi  Omubaka wa Nakawa West mubutongole  akakasiddwa ku kifo ky’akulira oludda oluvaganya government mu parliament.

Ssenyonyi azze  mu bigere bya Mathias Mpuuga  Nsamba  afuuse Commisioner wa  Parliament.

NRM ekomezaawo  ba Commisioner basatu ababaddeko okuli Solomon Silwaanyi  , Prossy Akanpulira ne Esther Afoyochan .

Wabula omubaka Alion Yorke Odria yemulugunyizza olwa NRM okukomyawo ababaka abo ku bwa Commissioner, nga tebasoose kuyita mu kamyufu k’ekibiina.

Wabula sipiika okwemulugunya akugobye era n’abuuza oba nga wabaddewo.abasemba abalondeddwa, bwebatyo nebaddamu okukakasibwa.

Bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament  sipiika Annita Among agmbye nti  akulira oludda oluvuganya government omuggya  Joel Besekezi  Ssenyonyi bwaba wakukola  bulungi ku kifo kino   ateekeddwa okumwebuzangaako.

Mathias Mpuuga Nsamba

Sipiika Among yebazizza  Mathias Mpuuga Nsamba  olw’okwoleesa eby’obufuzi eby’ekisajja kikulu mu kiseera waabereedde  nga yakulira oludda oluvuganya government.

Commissioner wa Parliament akiikirira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza ekibiina kye ki NUP olw’okumuwa omukisa okuweereza nga akulira oludda oluvuganya gavumenti  emyaka ebbiri n’ekitundu egiyise .

Mpuuga asabye abantu abali mu bifo by’obukulembeeze okubikozesa okukyusa ekifaananyi kye ggwangwa , era asuubizza nti wakukolera wamu nakulira oludda oluvuganya government omuggya Joel Ssenyonyi okuggusa ensonga zebatakabanira.

Akulira oludda oluganya government omuggya Joel Ssenyonyi  yeyamye okukolagana n’ababaka bonna okutuukiriza  obuvunanyizibwa bw’akwasiddwa.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius