Laddu ekubye omwana w'essomero lya Nakaswa Secondary School e Kasawo mu district ye Mukono naafiirawo.

Omwana ono ow'emyaka 14 kigambibwa nti laddu emukubye ali ne munne Ocaya Uthuman Nasuru, bwebabade bava okutendereza omutonzi nga baddayo mu kisulo kyabwe.

Okusinzira ku police, laddu emutiddewo ate abayizi abalala tewali afunye kisago kyonna, era omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n'emiriraano Luke Owesigire agambye nti bakyayongera okwetegereza camera eziri ku ssomero okwekenneenya embeera ebaddewo.

Luke asabye abamasomero okwongera okusawo ebyuma ebikwata laddu, okwewala embeera bweti.#