Kooti ewozesa abalyake n'abakenuzi esindise Mathew Bagonza ku alimanda mu kkomera e Luzira, ng'ono yakulira eggwandiisizo ly'akakiiko akawi k'amagezi eri president ku by'obusuubuzi obukwata ku by'amaguzi Uganda by'etunda mu mawanga g'ebweru n'okutandikawo amakolero mu Uganda aka  Presidential Advisory Committee on Export and Industrial Development (PACEID).

Bagonza avunaanibwa okukozesa obubi wofiisi, saako okukusa ensimbi eziwera million 171.7 eza shilling.

Oludda oluwaabi lulumiriza Bagonza, 39,  nti mu January 2024, bweyali akola mu wofiisi ya President, yawaandiisaayo kampuni y'obwannanyini nagituuma amannya gennyini aga  PACEID, nga n'emirimu gyayo gifaananira ddala, emirimu gy'akakiiko aka PACEID akassibwawo president.

Kigambibwa nti era Bagonza alina ensimbi zeyaggya ku account y'akakiiko ka PACEID obuakdde bwa shs 171.7 naazissa ku account ye ey'obwannanyini eri  mu Housing Finance Bank, Kololo Branch.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti ekigendererwa kyali kyakubuza bujulizi, ku ngeri gyebaali bafunyeemu ensimbi ezo.

Bagonza bwasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala erisooka Christopher Opit, tamukkirizza kubaako kyeyewozaako, kubanga omusango gwaliko gwa nnaggomola guwulirwa kooti enkulu.


Abawaabi ba government okuli  Teopista Nnam ne Viola Tusingwire bategeezezza nti okunoonyereza ku Mathew Bagonza ku misango emirala kukyagenda mu maaso.

Omulamuzi alagidde atwalibwe ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga  5 October, 2026.

Ebizibu  Bagonza byawerennemba nabyo byatandikira ku muduumizi w'amagye era mutabani wa president,   General Muhoozi Kainerugaba, okubuuza emirimu egikolebwa akakiiko ka PACEID n'emirimu gyekakola oba nga kaliwo mu mateeka.

Ssentebe waako Odrek Rwabwogo, nga bba wa Muwala wa president,nategeeza nti kaaliwo mu mateeka era ng'omulimu gwako omukulu gwali gwakuwabula president ku bikwata ku by'amaguzi bya Uganda ebitundibwa ebweru.

Odrek Rwabwogo ne mukyala we Patience Rwabwogo bombi babaddewo mu kooti nga Mathew Bagonza asomebwa emisango egimuvunaaniddwa.

Bisakiddwa: Betty Zziwa