Police ng'eyambibwako ebitongole ebirala ebikuuma ddembe ekutte abasajja 3 abagambibwa okuba nga babadde bawamba abaana abato nebakanda bazadde babwe ensimbi mu bitundu bye Buikwe.

Okubakwata baabadde bawambye abaana  2 okuva mu bitundu bye Bujowaali zone, mu Njeru Municipality mu district ye Buikwe.

Kigambibwa baawamba okuva mu maka ga Mugabanya e Buikwe ku saawa nga emu eyakawungeezi, bwebaazingiza amaka gano ne bakuba omukozi wawaaka olwo ne bakuuliita n'abaana bebaasangawo nga batudde balaba TV.

Abakwatiddwa kuliko Odongo Richard, Derric Nkuruziza ono kigambibwa nti abadde n'emmundu gyakozesa mu bumenyi bw'amateeka era nayo police yaginunudde, saako Kasaija Dan nti ye mudduumizi w'akabinja kano era akulemberamu okusaba abazadde b'abaana ensimbi.

Abakwatte babadde basabye obukadde bwa shilling ya Uganda 100, okuva mu bazadde b'abaana bebaabadde bawambye.

Omwogezi wa police ya Uganda Kituuma Rusooke agambye nti abazadde bwebaatutte ensonga ku pokice yasitukkidemu era neetandika okubayigga, okutuusa bweyabazudde. 

Awabudde  abantu ababeera bafunye ekizibu bwekiti obutawaayo ssente mubawambi, wabula bakolere wamu ne police bamalewo omuze guno.

Ebikolwa eby'okuwamba abaana n'abantu abakulu bizze  byeyongera, ng'ababyenyigiramu basaba kantanyi okubayiimbula, n'abamu baatuuka n'okufiirwa obulamu bwabwe.#