Ennaku 9 ezaalangirirwa Obukama bwa Tooro ez'okukungubagirako Omukama Oyo Rukidi IV, zitandise mu butongole, ku lunaku lwennyini Omuguta gwe lwegutuusiddwa mu Uganda, okuva mu America gyeyafiira.
Omuguta gutuusiddwa ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe ku ssaawa mukaaga n'eddakiika 2, ku Friday nga 04 September,2026.

Ennaku 9 ez'okukungubaga zakukomekkerezebwa nga 12 lwagenda okuziikibwa nga 12 September,2026, era nga luno olunaku lwennyini lwerubadde lugenda okubeera olw'amatikkira ge ag'omulundi ogwa 31.
Ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe, President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni yaakulembeddemu abakungubazi ng'omuguta gutuusibwa, oluvannyuma gussiddwa mu nnyonyi y'amagye neegwolekeza district ye Kyegegwa, olwo negussibwa mu mmotoka embikkule abantu ababadde bakwatiridde ku makubo nebagukubako eriiso evvanyuma.

Omuguta gutambuziddwa mu mmotoka ekika kya Benz 4Matic okuva ku kisaawe ky'essomero lya Humura COU primary School, ennyonyi y'amaggye wegutadde.

Obwedda baguyimiriza mu town ezenjawulo okusobozesa abantu ababadde babemberedde ku makubo mu district ye Kyegegwa ne Kyenjojo okugukubako eriiso evvanyuma, okutuukira ddala mu Kibuga Fortportal, wakati mu kwazirana" Enkuba ya Tutiire, Amata Gatikiire"
Omuguta gutuusiddwa mu Kikaali ekikulu e Karuziika ku saawa 7:00 ezakawungezi, era abasirkale ba Police basoose kukuba Saluti okugujja ku mmotoka, oluvanyuma nebagukwasa Omusuuga Charles Kamulasi akulembera ababiito okukola emikolo egy'ennono.

Mu nnaku 9 ez'okukungubaga abatooro bonna balagiddwa obutaddamu kwenyigira mu mikolo egye ssanyu gyonna okutuusa ng'okukungubaga kuwedde.
Mu mbeera yeemu akakiiko ka bantu 21 okuli ababiito, abataka abakulu b'ebika n'abakulembeze mu Bukakama buno bali mu ngeri yeemu bali mu nteekateeka ez'okunoonya n'okulaga abatooro Omukama omuggya, nga olunaku lw'okuziika olwa nga 12 September,2026 terunatuuka.
Bisakiddwa: Ssebuliba William
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment