Kampuni ezaakwasibwa obuvunaanyizibwa okukola enguudo ezenjawulo mu Uganda ziri mu mbeera yakusoomozebwa, olw'ebbula ly'ekirungo ekikozesebwa okutabula enkokoto okukola kkolaasi ku nguudo ekimanyiddwanga butumen, ekiviiriddeko enguudo nnyingi okuzingama.

Okugeza Oluguudo lwa Masaka Mu Kitundu Kya Lwera, kampuni eyakwasibwa omulimu gw'okukikola yaluyimiriza, olwayiwako ekipande, omulimu negusuulawo.

Amyuka ayogerera ministry y'ebyentambula n'enguudo Emmanuel Ainebyona abuulidde CBS nti ng'ogyeko  obugayaavu bwaba contractor bano, ekirungo kino ekya butumen kyabula, era tebasobola kuyiwa kolaasi ku nguudo wekitali.

Ainebyona agambye nti ekirungo kino kigyibwa mu mawanga gabuwarabu naddala mu Iran ewali olutalo, lwagambye nti lulemesezza ebyamaguzi okutambula obulungi nga kwekuli n'ekirungo kino ekya butmen ekikozesebwa okukola enguudo.


Mu ngeri yeemu ministry y'ebyentambula agamba nti n'ebbeeyi y'amafuta eyeyongera buli olukya nayo eyolekedde okukalubya okukola enguudo.

Emmanuel Ainebyona agamba nti wadde mu kiseera kino ekizibu ky'amafuta tekinasajjuka nnyo eri ba contractor bano, naye embeera gyeyeyongera emirimu gyolekedde okukaluba olwamafuta agafuuse kaweereege.#