Kampuni okuli Centenary bank,  Total Energies, Motor Care , Green Hub, n’obuwagizi okuva mu government ya Denmark bagguddewo ekifo  ewokukyajinga ebidduka ebikozesa amasannyalaze ku luguudo lwa Wampeewo Avenue mu Kampala.

Okusinziira ku Stephen Kaboyo, Ssentebe w’olukiiko oluwabuzi olwa kkampuni ya Total Energies,  kino bakikoze  okutasa obutonde bw’ensi n’okuyamba  baddereeva n’abavuzi ba pikipiki n’emmotoka ezamasanyalaze okufuna empeereza.

Kaboyo agambye nti  okuggulawo charging station za mmotoka ne pikipiki z’amasannyalaze  okwetoloola eggwanga,   yeemu ku nteekateeka yabwe eyokulaba nga Uganda ekendeeza omukka ogwobulabe  oguva mu bidduka, omwaka 2050 we gunaatuukira.#