Abantu okwetoloola Obukama bwa Tooro, bekuluumulula nga bagenda mu Kikaali ky’omukama ekye Karuziika mu kibuga Fort portal, okukuba eriiso evvanyuma ku muguta gw'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.


Olukiiko olukulembera enteekateeka z'okutabaaza Omukama Oyo Rukidi IV, lutegezezza nti enteekateeka y'abantu ba bulijjo okukuba okukuba eriiso evvanyuma ku muguta yakumala wiiki nnamba.


Omukama yava mu bulamu bw'ensi nga 27 August, Omuguta negukomezebwawo mu Uganda nga 04 September, olwo nga 12 September lwagenda okutabaazibwa, era nga lwe lunaku lwennyini olwandibadde olw'amatikkirwa ge.


Omumbejja we Tooro Elizabeth  Nyabongo Bagaaya Akiiki, era nga ye ssenga w’omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, awabudde abatooro naabatoorokati, okukuuma emirembe n’okulindirira okusalawo okutuufu ku nsonga zonna eze Tooro.


Omumbejja  Bagaaya Akiiki, nga munnamateeka omutendeke nga kati atemera mu gyobukulu 90, agambye nti wadde omukama katonda amuyitidde ku myaka emito, abadde alina ebirooto bingi eri obukama bwa Tooro.


Richard Rwabuhinga, eyali sentebe wa district ye Kabalore era nga ye sentebe w,akakiiko akaatesitesi ak'omukolo ak'okutabaaza Omukama Oyo, ategeezezza nti ensonga nnyingi ezikyagenda mu maaso mu Bukama bwa Tooro, era nga buli emu erina abantu ab'enkizo abazivunaanyizibwako.


Mu kiseera kino ensonga y'okuzuula n'okwekenneenya Omukama addako eri ku mwanjo ddala.#


Bisakiddwa: Ddungu Davis