Ebadde nnyiike njereere ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe nga omuguta gw’omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, nga gutuusibwa ku kisaawe Entebbe.
Abakungubazi bakulembeddwamu president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, maama w'Omukama Best Kemigisha, Ssengawe Omumbejja Elizabeth Bagaya, mwannyina Ruth Komuntale n'abakungu abalala bangi.
Bannadiini okuva munzikiriza ezenjawulo,Ababiito ,kwossa banna byabufuzi babaddewo mu bungi.
Omuguta gutuusiddwa ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe ku saawa mukaaga n'eddakiika bbiri, nga 04 September,2026.
Omukama Oyo yava mu bulamu bw'ensi nga 27 August,2026.
Ennyonyi eyaguggye mu America yatuukidde Kenya, gyegugyiddwa okutuuka ku kisaawe Entebbe, era nga nr band ya police ebaddewo.

Omukulembeze w'eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni asaasidde abantu be Tooro olw’okuviirwako omukama mu kaseera webabade bamwetaagira ennyo okwongera okukulaakulanya Obukama.
President Museveni agambye nti mu November 2025,Omukama yamutegezaako ku kirwade kya Kokolo ekyali kimusenkenya era kwekutwalibwa mu America okufuna obujanjabi.
Presidenti museveni agambye nti eggwanga lifiiriddwa omukulembeze abadde aziimbiddwa kumpi ku buli mutendera.

Abakungubazi bakkiriziddwa okumukubako eriiso evvanyuma, era oluvanyuma omuguta guteereddwa mu nnyonyi y’amagye negutwalibwa mu district eye Kyegegwa, olwo negussibwa ku mmotoka embikkule okutuuka mu kikaali e Kaluziika.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment