Okukuza olunaku lw’abakyala 2024 – abakyala abaasomye amawulire ku mikutu gya CBS FM balunyumya nga lutabaalo
Namubiru Juliet March 9, 2024 4:40 PM
Okukuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna, nga 08 March,2024, ku CBS abakyala okuva buweereza obwenjawulo bebakoze emirimu gyonna egikolebwa ku mpewo mikutu gyomb eyo’Obujajja 88.8 n’Emmanduso 89.2 Abakyala abaasomye amawulire bagamba nti baafunye ekinyegenyege okuddayo okusoma eby’amawulire ate abamu nga batenda abagasoma buli lunaku okubeera ku bunkenke obutagambika. Abantu abanjawulo abaweereddwa omukisa okusoma amawulire batenderezza […]
Owek.Cotilda Nakate Kikomeko minister w’ekikula ky’abantu, eby’obulamu, ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nnaabagereka asomye amawulire ku ssaawa kkumi ezolweggulo ku 88.8
Okukuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna, nga 08 March,2024, ku CBS abakyala okuva buweereza obwenjawulo bebakoze emirimu gyonna egikolebwa ku mpewo mikutu gyomb eyo’Obujajja 88.8 n’Emmanduso 89.2
Juliana Kanyomozi ne Faridah Nakazibwe basomye ge ssaawa ssatu ezokumakya ku radio E mmanduso
Abakyala abaasomye amawulire bagamba nti baafunye ekinyegenyege okuddayo okusoma eby’amawulire ate abamu nga batenda abagasoma buli lunaku okubeera ku bunkenke obutagambika.
Juliet Kakande omubaka omukyala owe Masaka ne Aidah Erios Nantaba omubaka omukyala owe Kayunga basomye amawulire age’ssaawa ssatu ezokumakya ku Cbs radio y’obujajja 88.8
Abantu abanjawulo abaweereddwa omukisa okusoma amawulire batenderezza Radio ya Kabaka Cbs olw’omukisa gweyabawadde okuwerezaako ku Radio ya Kabaka.
Omubaka omukyala owa district ye Kayunga Aidah Nantaba n’omubaka omukyala owa Masaka Juliet Kakande bano bagamba nti bulijjo bawuliriza abawulire ga cbs naye nga tebamanyi keetalo kabeerawo mu kugateekateeka.
Sister Teddy Nakyanzi ne RDC we Buikwe Hajjati Haawa Ndege baasomye amawulire agafa mu bitundu bya Buganda ku ssaawa mukaaga ezomuttuntu ku 88.8
Sister Teddy Nakyanzi okuva mu maka gabakateyamba e Nsambya ne RDC wa Buikwe Hajati Hawa Ndege bano nga basomye amawulire ga saawa omukaaga ez’emisana agava mu Buganda.
Bagamba nti bakaankanidde ku muzindaalo naye nga buli lwebalowooza nti waliwo ababawuliriza nebaguma.
Regina Bakitte mayor wa Nansana municipality n’Omulongo Babirye Lillian basomye amawulire ga ssaawa munaana ez’emisana ku 88.8
Abalala okuli olubaka wa Mpigi Teddy Namboozi,Meeya wa Nansana Regina Bakitte,kansala Nakabugo bagamba nti okusoma amawulire ku lunaku luno kyabawadde omukisa okuwuliziganya n’abantu babwe ku ngeri eyenjawulo etali yabyabufuzi.
Amb.Nekesa Barbra Oundo Omuwanika wa NRM ne Gorrette Masadde ssenkulu wa Uganda Institute of Banking and Financial Services basomye amawulire ge ssaawa ttaano ezokumakya ku Emmanduso 89.2Rashida Namboowa ssentebe wa L.C 5 owe Butambala ne Dr.Sarah Zalwango okuva mu KCCA basomye
Okutwalira awamu abakyala bakinooganyizza nti buli muntu alina okuwa ekitiibwa omulimu gwa munne kubanga sibyangu buli wamu.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment