Abantu abawerako basimatuse okufiira mu kabenje e Mutundwe mu gombolola ye Lubaga mu Kampala ,makanika abadde avuga emmotoka emisinde ng'agikanika bwemulemeredde naayingira ekikomera ekibaddemu abantu.
Kitegerekese nga makanika abadde ava mu bitundu bye Bunamwaya nga agezesa buleeki oba zikola ,emmotoka nemuwabako era bagenze okumugyamu nga batebereza nti afudde
Abatuuze mu kitundu kino bagamba nti makanika abadde avugisa kimama ate nga ali ku kaserengeto
Wabula abatuuze era bagamba nti mu bbanga lya wiiki emu yokka ekitundu kino kyakabeeramu obubenje bwamirundi ebiri naye nga buva kubagezesezaayo emmotoka naddala buleeki okulaba oba nga zisiba.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment