Bank ya I&M ezizza buggya Omukago gwayo  n’Obwakabaka bwa Buganda n’ekigendererwa oky’okutuusa obuwereeza ku bantu mu Buganda ne Uganda

Emisinde gy’amazaalibwa g’Omutanda ag’emyaka 69 gyakubeerawo nga 7 April,2024 mu Lubiri e Mengo nga gigendereddwamu okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya.

Mu kuzza Omukago obuggya Obwakabaka bukiikiriddwa Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda  Owekitiibwa Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa, ate yo Bank ya  I&M  ekiikiriddwa akulira emirimu mu Bank eno Robin Bairstow.

Owekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde ku mukolo guno mu Bulange e Mengo  nagamba nti enkolagana zonna ezituukibwako wakati w’Obwakabaka n’ebitongole ebyenjawulo  zigendererwamu okukulaakulanya Buganda.

Bank ya I&M ye Bank entongole  ewagidde emisinde gy’amazaalibwa g’Omutanda egy’omwaka guno 2024.

Owekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu mu Buganda okujjumbira okugula obujoozi bw’emisinde gy’amazaalibwa  obutundibwa emitwalo 20,000/=.

Ssenkulu wa Majestic Brands Omukungu Remmy Kisaakye yeyamye bakunyweeza enkolagana etuukiddwako ne Bank ya I&M okukyuusa embeera z’abantu mu Buganda .

Akulira emirimu mu I&M Bank Robin Bairstow yebazizza obwakabaka olw’okufaayo ku nkulaakulana ya banna Uganda, akakasizza nti bakuwagira Buganda mu ntekateeka zaayo.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius