President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni, ba minister, n’Ababaka ba parliament bakungubagidde  abadde omubaka wa Adjuman West Rtd.General Moses Ali eyavudde mu bulamu bwensi ku myaka 87 egy’obukulu.
‎Moses ali yafa ku Saturday nga 18 July,2026.
President Museveni akulembedde ba minister be okukungubagira Gen.Moses ku mukolo ogubadde ku parliament, atadde ekimuli ku ssanduuko n’okussa obubaka mu kitabo ekiwandiikiddwamu obubaka obukungubagira Moses Ali.
President Museveni ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde ayala emirembe n’enkulaakulana, saako okutabakanira eddembe ly’obuntu.
Agambye nti Moses Ali yakola nnyo okulwanyisa enfuga embi mu myaka 1970s.
Omugenzi Gen.Moses Ali
Parliament ekungubagidde Gen. Moses Ali, era ababaka bamwogeddeko ng’omuntu abadde buli omu ekitiibwa.
Mu lutuula lwa parliament olwenjawulo olw’okumukungubagira, ‎Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja, aleese ekiteeso ekisiima emirimu gy’omugenzi, nekisembebwa amyuka omukulembeze w’eggwanga major  Jessica Alupo,akulira o n’omumyuka wa Ssaabaminister owokubiri Rebecca Alitwala Kadaga, wamu naakulira oludda oluvuganya mu parliament Joel Ssenyonyi.
Batenderezza obukakkamu n’obwetowaze bw’omugenzi, era nti  abadde awa ekitiibwa buli muntu.
‎‎‎Akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi naye asiimye emirimu egikoleddwa General Moses Ali, era naasaba abakulembeze abalala okuyigira ku mugenzi, nga bawa ssemateeka w’eggwanga ekitiibwa n’okukozesa obulungi wofiisi zaabwe.
Moses Oli azze aweereza mu bifo ebyenjawulo okuviira ddala mu myaka gya 1970s gyeyaweereza nga minister ow’ebyensimbi era ng’owemirimu, naddamu naweereza nga minister mu government ya NRM awamu ng’omumyuka wa Ssaabaminister okumala ebisanja 3.
WAfiiridde nga mubaka wa Adjumani West, era ng’abadde yakawummuzibwa ku ky’omumyuka wa Ssaabamonister ebbanga lya myezi 2 egiyise.