Kooti enkulu mu Kampala etaddewo olwa nga 30 July,2026 okuwa ensala yaayo, ku kusaba kwa president wa PFF era eyali Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ak’okuweebwa akakalu ak’okweyimirirwa.
Lukwago avunaanibwa emisango gy’okumanya ku lukwe lw’abaali baagala okulya mu government ya Uganda olukwe wabula naatabalonkoma mu babuyiinza.
Omulamuzi  David Matovu  alagidde enjuuyi zonna ezikwatibwako omusango guno okuba ng’etaddeyo ebiwandiiko byonna ebikwata ku kakalu kano, obutasukka nga 28 July,2026.
Lukwago aleeteddwa mu kooti okuwulira okusaba kwe, era naaginnyonyola nti obulamu bwe buli mu matigga nga yetaaga okugenda amangu mu ddwaliro e Buyindi aloongoosebwe.