Abasajja balinga bapantagonia tebamatira –  bakubuuza Kabaka aliwa, bw’obamuwa nga bakubuuza Kabaka Mwanga aliwa?

 

Akawakati kano katuweereddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu kyeggulo kya Kaliisoliiso dinner 2024.

Kiyindira ku Speke Resort Hotel e Munyonyo.

Ensimbi ezinaava mu kyeggulo kino zakuyambako eddwaliro lye Nkozi okuzimba ekifo awajanjabirwa abagudde ku bubenje ku luguudo lwe Masaka n’ewalala.